Kivumbi Achileo Kkooti emukirizza okweyimirirwa
21 — 10Netonda ku lwabakyala bonna olwekikolwa kya Mercy – Hon. Namugga
22 — 10Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Mitooma Hon. Juliet Agasha Bashiisha avuddeyo olunaku olwaleero nategeeza Palamenti nti Omukyala Mercy Timbitwire Bashiisha eyakwatiddwa olwokukuba omusirikale wa Poliisi y’ebidduka oluyi bweyetonze olwekikola ekyo nategeeza nti ku lunaku kino lwekyatuukawo yalina ebizibu ebyali bimusumbuwa.
Ono ayongeddeko nti Mercy mulamu we nga mukyala wa Mwanyina, nti era olunaku lw’eggulo bweyatwaliddwa mu Kkooti ono bweyagenze okwogerako naye namutegeeza nti yetonda olwekyo kyeyakoze kuba kyabadde kyonoona erinnya lya famire. Agasha ategeezezza nti betegefu okugondera amateeka singa naddala anaaba abonerezeddwa era nayisibwa mu ngeri eyobwenkanya.
Bya David Turyatemba