Omu ku babaka abakiikirra amagye mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Lt. Col. Felix Kulaigye akubirizza babaka banne okukulembeza ensonga z’abantu baabwe bebakiikirira okusinga okwefaako bokka nabokka n’ebibiina mwebava .
Kulaigye agamba nti abantu basuubira bingi okuva mu babaka baabwe kubanga baabawa obuyinza okubakiikirira wabula ate kiswaza ababaka okudda mu byabwe bo nebabeerabira .
Ayongerako n’okubakubiriza okusoma ennyo bagaziye kukumanya kwabwe kibayambeko okwanguyirwa okukola emiririmu gya Palamenti n’obukugu.