Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Mpulidde omusajja oli agambye nti abamu mumpagira ate abalala temumpagira. Kyonna kyemuli! Kino njagala mukimanye nti ekyakolebwa ku mata kisobola okukolebwa ku bintu byaffe okuli amaliba n’engoye.
Eyo y’ensonga enkulu. Osobola okutandika nga osuubula ebintu ebweru naye kyolina okumanya nti bwoba oyagala Eggwanga lyo olina okufuba okulaba nti otandika okukola ebintu n’okubitunda ebweru. Bwoba watuukako e South Korea, waliyo Kkampuni bagiyita Samsung nga kati ekola kkompyuta n’ebintu ebizibuzibu ebirala.
Mu 1991 bwenagenda e South Korea, eyagitandikawo Lee Byung-chul yali asuubula mivumba okuva mu Nsi endala. Nayekati akola n’okutunda ebintu ebweru.”