Kizito Ronald Muswangali aka Omutembeeyo wamu n’endukusa ye Mbalire Pavin ab’e Mamba beetisse Engule ya Radio Simba 2016.
Kabadde kaseera ka kuluma bujiji nakutakula mitwe eri abakontanyi abana abaatuuse ku lukontana olw’akamalirizo e Lugogo mu MTN Arena nga nasiisi w’abawuliriza ba Luboggola aboota buliro .
Muswangali asoose n’alindiggula eri Namagambe Pasis nga amukubizza kaga , olwo n’ayambalagana ne Walugembe Chrizestom ow’empologoma ku kamalirizo nga bayita mu bibuuzo byebimu mu nkola ey’akannyogoga, era n’amuwangula n’enjawulo ya kabonero kamu – 33 ku 32.
Kinajjukirwa nti ku lukontana luno, Maama Fiina asinzidde wano n’awa Maalenyiriza – Mbalire Pavin endukusa ya Muswangali emitwalo 500.000 era n’ategeeza nti endukusa eno yaakuba ngagga n’okumusinga.
Wabula era wabaddewo akabuguumiriro nga Maalenyiriza atta ekibuuzo kya ssente za Yuganda ng’ozigasse zikola ssente mmeka – 88000, wano enduulu n’esaanikira Lugogo, abantu nebatandika okuleetera Mbalire ssente empya n’enkadde era olukontana ne lusiriikiriramu okumala eddakiika eziwera.
Bwatyo Muswangali oluvannyuma lw’okulangirirwa ku bwa Ssengule, akwasiddwa Kyeke ya bukadde 18 okuva ku Luboggola Simba, Endukusa ye nayo n’efuna ya buna okuva mu RNJ Power Center ate endukusa esinze okufuna obubonero obungi Namakula Shamirah nayo n’efuna ya bukadde buna okuva mu Harris International. Muyogeeyoge!