Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, asabye abaami ba Kabaka okutendeka abaweereza abaawansi nabo bategeere entambuza y’emirimu gya Kabaka.
Bino Sipiika abyogeredde ku Bulange, bw’abadde atikkula Oluwalo oluleeteddwa Bannakyaddondwa ne Bannabutambala, olwa leero.
Agambye nti kikulu nnyo abaweereza bonna mu buweereza okumanya emirimu nga bwe gitambula ate n’okugyenyigiramu.
Asiimye bonna abeetabye mu Luwalo lw’agambye nti luyamba Obwakabaka okutuusa obuweereza ku bantu omuli; ebyenjigiriza, ebyobulamu, ate n’okubuzimba mu ngeri ez’enjawulo.
Abakubirizza okwongera amaanyi mu mirimu gye bakola, naddala okulima emmwanyi, kubanga ky’ekirime ekisobola okugoba obwavu mu Buganda nga Beene bw’azze atukubiriza.
Ye Oweek Joseph Kawuki, Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu, okwongera okukuuma omutindo gwe batuuseeko mu Luwalo baleme kuddirira.
Asabye abakulembeze n’abaweereza mu Bwakabaka okukunga abavubuka beeyunge ku nteekateeka ya Katikkiro ey’okusisinkana abavubuka ababeera ebweru nga bayita ku mutimbagano, nga 29 Museenene, 2022.
Catherine Kikomeko, omukubiriza w’Olukiiko lw’essaza ery’e Kyaddondo, nga yabaddewo ku lwa Kaggo, agambye eggombolola zonna mu Kyaddondo zitambulira mu nkola ey’okuvuganya, ekibayamba okukiika embuga mu ngeri ejjudde.
Ssentebe wa district y’e Butambala, Omuky. Rashida Namboowa, yennyamidde olw’abantu abamazeewo ebibira mu Butambala, ekiviiriddeko embeera y’obudde okukyukakyuka.
Ku ggombolola ezikiise olwa leero kubaddeko; Mutuba IV Kampala Masekkati; Ssaabawaali Gombe; Mukulu wa Kibuga Lubaga; Mumyuka Nakawa; Mutuba III Makindye; Ssaabagabo Lufuka; Mutuba V Kawempe; Musaale Busukuma, ne Mutuba II Nabweru.
Oluwalo lwa leero lwetabiddwamu n’ebibinja eby’enjawulo okuva mu Kyaddondo okubadde; Uganda Taxi Operators Federation; aba katale k’e Nakasero; abe Rukungiri, ne Basoga Community.
Bonna awamu baleese obukadde obusoba mu 100.