Omusumba w’Abalokole Robert Kayanja avuddeyo ku mukutu gwe ogwa Twitter; “Ngabalala batulwana olwokugezaako okumalawo ekizibu olw’ensonga emu oba endala, tujja kugenda mu maaso nokusala amagezi agaffe wano okumalawo ebitusomooza. Kati e Karamoja batandise okukungula ku ttaka lyabwe okulwanyisa ebbula ly’emmere. Olunaku lumu n’enkwa zijja kufuuka lufumo mu nte zaffe.”
Ono abadde ayanukula akulira ebyempuliziganya mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by’eddagala mu Ggwanga ekya Uganda National Drug Authority Abiaz Rwamwiri eyavuddeyo nategeeza ng’ekitongole kino bwekyazudde oluvannyuma lwokwekebejja mu Lab eddagala erikolebwa Kkampuni ya Pastor Robert Kayanja erya ‘Tickoff’ nerizuulibwa nga lirimu ebirungo by’eddagala eryobulabe ebyawerebwa nga; Diazinon, Fripronil (nga lino lyawerebwa okufuyirwa ku mmere eriibwa ebisolo) ne Benalaxyl (nga lino lirina obusobozi okuviira okukwatibwa kkookolo). Ono ayongeddeko nti kyewuunyisa nti bawandiikako nti eddagala lino likolebwa ebintu