Abavubuka Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM abegattira mu NRM Youth bavuddeyo nebalumba offiisi ya Ssentebe w’Ekibiina mu Kampala Central Salim Uhuru nga bagamba bakooye okuyisibwamu amaaso nga babawa omutwalo gumu. Bano beyambudde engoye z’ekibiina era nebatiisatiisa n’obutalonda Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni singa tabasisinkana.
Bano kati abeyita ba NRM Disgruntled Youth bagamba bakooye okuyisibwa nga ekyokuttale.