Aba Famire ya Hamuza Mwebe bavuddeyo nebalajanira Gavumenti n’ebitongole ebikuumaddembe okuyimbula omuntu waabwe eyazzeemu okukwatibwa nga yakayimbulwa kkooti enkulu bweyamwejjeerezza ku misango egibadde gimuvunaanibwa.
Mwanje abadde yakwatibwa era ng’avunaanibwa omusango gwokutta eyali omuserikale wa Uganda Police Force ASP Muhammad Kirumira.