Muve ku maggye gaffe – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Ku nsonga y’obusosoze, naddala nga mwogera ku mirimu mu ‘Public Service’, abantu aboogera kino bagezaako kumala budde bw’abantu n’okubabuzaabuza. Emirimu n’essente tebiva mu kubeera bakozi ba ‘Public Service.

Leero emirimu egisinga giri mu Private Sector okugeza; Amakolero – 700,000, Obuweereza – 1,300,000, ICT – 170,000, Ebyobulimi – 11,965,200. Nabwekityo Public Service nebweba nga erimu Banyankore bokka tekijja kubayamba kubeera bulungi kusinga balala.

N’ekirala ekyokugamba nti Abanyankore befuze emirimu gya Public Service 480,000 si kituufu. Lwaki era kisoboka kitya Abanyakore okuba nga befuze Public Service nga, Omu Westerner eyasembayo okukulira Public Service Commission omugenzi Mzee Bikangaga okuva 1979 okutuusa 1990. Okuva olwo Public service Commission yakulirwako; Zikusooka – Musoga, Muzaale – Musoga, Ralph Ochan – Acholi, nga ne bammemba ku kakiiko bava mu bitundu byonna.

Education Service Commission yali ekulirwa Waggwa Lubega okumala ebbanga ddene nga kati ekulirwa Sam Luboga – Musoga. Ssentebe wa Health Service Commission ye Dr. Pius Okong, – “munyankore” okuva e Teso.

Abakulira obukiiko obwo bwemenye waggulu bayivu nnyo mu bisaawe ebyo, bwebaba nga bawa Banyakore bokka emirimu kitegeeza nti, Abanyakore bankizo nnyo. Tujja kumanya ebyekisiru bino ebyogerebwa gyebiva.

Bwetujja ku maggye, mba gabuwi, mujje amggye mu byekisiru. NRA, ne UPDF maggye gakwewaayo nakwerekereza awatali musaala oba omusaala omutono. Bawaayo (twaayo) obulamu bwabwe mu ngeri eyo. Nabwekityo, UPDF mugyesonyiwe mugiggye mu bintu by’okusosola mu mawanga.

Bwoba tokolera mulabe, tosobola kugenda kugamba nti tufulumye amannya gabo abali mu UPDF, amayinja gaabwe n’emirimu gyabwe.

Kyetusobola okugamba kirimu kimu, okuyingira @Uganda Police oba UPDF kikolebwa mubulambulukufu. Ekisingakawo kiri nti muve ku maggye gaffe.

Ekirala enjiri ey’okusosola mu mawanga ku social media erina okukoma. Wadde nga mbeera mwetegefu okunnyonyola, naye mujjukire nti ebintu ebyo ebikyaamu, nekalebule bivunaanibwa mu mateeka.”

Leave a Reply