Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine; “Neetabye mu kuziika Mzee Christopher Ssembuya ku kyalo Kikwayi, mu Disitulikiti y’e Buikwe eyafa ku lwokubiri lwa wiiki eno. Ono yomu ku Bannayuganda abasuubuzi abayitimuka ennyo, Muzeeyi Ssembuya yakulemberamu okutandikawo bbanka, okuzimba amakolero wamu n’ebyempuliziganya mu Yuganda.
Yatandikawo Sembule Group of Companies mu 1971 ne munne Buule, yatandikawo Sembule Steel Mills nga ye Kkampuni yo Munnayuganda eyasooka okukola ebintu ebya sitiiru ng’obutimba nemisumaali.
Yatandikawo ne Sembule Investment Bank (kati Bank of Africa Uganda); Pan World Insurance eyafuuka Lion Assurance ne Cable International Television (CIT) eyafuuka WBS TV. Yali CIT eyasooka okutuusa ku Bannayuganda emikutu gyensi yonna nga CNN ne DW.
Mu myaka gya 1980, Sembule Group yali ekola ebintu ebyenjawulo omuli ne leediyo nga Makula ezatutuusa ku tekinologiya wa FM mu Yuganda, bulb ezikekereza amasanyalaze n’ebitaala byo ku makubo, Terefayina ngayita mu Sembule Electronics Ltd. Wetwatuukira mu mwaka gwa 2000, erinnya Sembule lyali lyamaanyi nnyo mu kisaawe kyamakolero mu East Africa.
Ekyenaku, kkampuni za Muzeeyi Ssembuya zafunamu obuzibu bw’ensimbi mu gye 90 nga giggwako. Mu 2014, Sembule Steel Mills yatwalibwa oluvannyuma lwa Gavumenti obutamuyamba kumutaasa. Kikwasa enaku nti n’okutuusa olwaleero mu 2022 Muzeeyi Ssembuya wafiiridde abadde akyegayirira Gavumenti okumuyamba n’obuwumbi 18 asobole okuzzaawo bizineesi ze.”