Mwebale nnyo banange – Bobi Wine

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine avuddeyo omulundi ogusoose nawamdiika ku ebyo ebyamutuukako bweyakwatibwa mu Arua. Bino abiwandiise mu kiwandiiko kya bigambo 3,611;

Nebaza buli muntu eyayimirirawo ku lwange, mwebale nnyo, sisobola kubasasula mu ngeri emu oba endala okujjako okulemera ku nsonga ezitugatta omuli obwenkanya n’eddembe ly’obuntu, wabula olwaleero bino byempandiise sibyakwebaza wabula njagala nsooke mbabuulire ebyantuukako nsobole okuddamu ebyo ebyawandiikibwa President Museveni wamu n’abakozi ba gavumenti ab’enjawulo.

Nga 13-Aug lwelwali olunaku lwa campaign olusembayo era nag lwatuwa esuubi nti Hon. Kassiano Wadri yali awangudde. Twava ku Rally ssaawa kumi n’emu n’ekitundu era abantu batuwerekerako nga bayimba People Power netugenda ku Royal Hotel Hon. Wadri weyali asula.

Twalaba amawulire g’essaawa emu mu Hotel nga bwetunywa ccaayi nga bwetwejukanya olunaku nga bwerubadde. Amawulire gali ganyuma nga kyeyoleka lwatu nti tuli bawanguzi okusinziira ku bantu betwalina. Bwetwamaliriza natuula mu motoka yange eya Tundra mu mutto gwa Passanger era nga neyali anvuga kw’olwo teyali Yasin, wabula driver yafuluma ayite banaffe abaali basigadde tugende wabula nalwayo nnyo, bwentyo nasalawo okugenda mu motoka yange endala Land Cruiser kuba yali kumpi ne Tundra nga ne driver mwali netusimbula netugenda ku Pacific wenali nsula.

Ebyo byonna ebyagwawo oluvannyuma saabiraba era saamanya nangeri Yasin gyeyadda mu kifo wenali mu Tundra kuba yali avuga motoka ndala kw’olwo.

Nali ninnyalinnya amadaala Driver wa Tundra yajja adduka nangamba nti Yasin Kawuma yali akubiddwa amasasi, saakikiriza era bwentyo namubuuza gybabadde nangamba nti babadde mu parking ya Hotel era bwentyo nakirira amadaala gyenakuba amaaso nga muganda wange, mukwano gwange Yasin nga avaamu omusaayi, bwentyo nendagira Team yange bamutwale mu ddwaliro bakubire ne Poliisi, twali tetunavaawo nendaba abasirikale ba SFC abaali abakambwe ennyo nga bakuba buli omu gwebalaba.

Bwebandaba neboogera mu luswayiri nti ‘omusajja wuuli’ era awo nebatandika okukuba amasasi buli omu nadduka, nange nadduka n’abantu abangi era ku Hotel nayingira room gyenasanga nga nzigule nensibiramu. Mukadde ako omuyambi wange ku bya social media weyamperereza ekifaananyi kya Yasin nenkiteeka ku twitter kuba nali njagala ensi yonna emanye ekyali kigenda mu maaso. Gyenali nekwese nali mpulira abantu wabweru wa Hotel nemunkuubo nga balekaana basaba buyambi. Era nali mpulira abasirikale nga basika abantu mu Hotel nga bwebabakuba awatali kisa.

Leave a Reply