Mwewale akawuka akaleeta mukenenya

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asabye banna Uganda okulwana ennyo okulaba nga beewala okufuna akawuka kaamukenenya naddala nga bali mu kaweefube okulaba nga bakalwanyisa.

Bino bibadde mu bubaka bwe bwatisse omumyuka we Edward Kiwanuka Ssekandi ku mukolo ogwokutongolezaako enkola ey’okulwanyisa akawuka ka siriimu omwaka gwa 2030 gugende okutuuka nga kaweddewo era nga enkola eno yatuumibwa  the Presidential first track initiative nga omukolo gubumbujjidde ku kisaawe kya GTC mu district ye Kalungu.

President Museveni ategeezezza nti akimanyi nti akawuka ka siriimu kali nnyo mu baana abato kyokka nga kino kiva ku basajja abakulu abaganza abaana abato kyokka ate nga kizuuliddwa nti bo batya okugenda okufuna eddagala mu malwaliro ekibongedde okufa.

Minister avunaanyizibwa ku nsonga z’obwa president Esther Mbayo asabye abasajja abakulu okuleka abaana abato okutwala mu maaso n’emisomo gyabwe baleme kutta biseera bya baana bato eby’omu maaso.

Omubaka wa Kalungu West Joseph Gonzaga Ssewungu agamba nti gavumenti esaanye okwongera amaanyi mu basawo b’ebyalo (VHTs) okusobola owongera obuweereza ku kulwanyisa siriimu.

Atwala eby’obulamu mu district ye Kalungu Dr Ronald Mutebi ategeezezza nga bwebagezezaako okulaba nga balwanyisa akawuka ka siriimu nga kati bagenda nnyo mu bitundu ebisuubirwamu akawuka akangi .

Kaweefube ono atongozeddwa mu district 23 ezikola amasekkati ga Uganda.

Leave a Reply