IGP Martin Okoth Ochola avuddeyo kubyabaddewo e Mityana;
Poliisi ya Uganda enyolerwa wamu n’abenyumba y’omugenzi Samuel Ssekiziyivu, nabwekityo tutandise kunoonyereza ku basirikale abakubye abantu amasasi nga be; No. 36334 CPL Kefa Moshi ne No. 54214 PC Cheptai Morris bano twatandise okunoonyereza kukyavuddeko okutta okuttibwa kwa Samuel. Bano bagenda kuvunaanwa omusango gw’okutta wamu n’okugezaako okutta abalala. Bano bajja kuleetebwa mu kkooti bawerenembe n’emisango.
Mu ngeri y’emu nsaba Bannayuganda bonna okwewala okwenyigira mu bikolwa naddala ebirimu okwekalakaasa kuba tebikirizibwa era tebiri mu mateeka
Poliisi esobodde okukwata abantu 23 nga bano kigambibwa benyigidde mukwekalakaasa okwabaddewo. Tubasuubiza nti Poliisi ejjakugenda mu maaso n’okukuuma Bannayuganda mu ddembe, nga ebakuuma nga balamu, ebintu byabwe wamu n’emirembe.
Martin Okoth Ochola
Inspector General of Police