Omulabirizi w’e Mityana Bishop Steven Kazimba Mugalu alabudde abasumba n’ababuulizi wonna mu Disitulikiti ezikola obulabirizi bw e Mityana obuteetantala kusomesa na kutaputa Bayibuli mu ngeri ey’okuvvoola okufaananako n’ebyalabikira mu mawulire nga omukulembeze omu mu ddiini ateekera Bayibuli omuliro n’ebengeya.
Omulabirizi asinzidde mu ttabamiruka ow’abawule n’ababuulizi mu bulabirizi bw’e Mityana nga abumbujjidde ku kitebe eky’obulabirizi ku kasozi Namukozi nga bano bavudde mu disitulikiti okuli, Kiboga, Kyankwanzi, Mubende ne Mityana .
Asinzidde wano n’abategeeza nti wakati nga babuulira enjiri ,tebeetantala okukozesa olulimi n’entaputa evvoola ekitabo ekitukuva sinakindi okwogera ebyo byebateekakasa nga mu kino bayinza okuwabya abakkiriza nga ekisingako balina okwebuuza n’okufuna okuwabulwa.
Ate ye Nampala w’ ababaka mu Palamenti ab’oludda olw’ekibiina ekiri mu buyinza era nga ye mubaka omukyala akiikirira Kiboga RUTH NANKABIRWA asinzidde wano n’awanjagira ababuulizi n’abaawule wakati nga baliisa abantu ekigambo kya katonda ,bafeeyo n’okubalabula akatyabaga akali mu kutyoboola obutonde bwensi.
Ono agambye okutyoboolebwa okw’obutonde bwensi kyekireetedde ebirime okulumbibwa obuwuka obukambwe so nga nga Gavumenti terina nsimbi zimala okugula eddagala okusobola okutuula ku nfeete ekizibu kino.