Nabbi Omukazi asindikiddwa mu kkomera e Kigo

Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Gladys Kamasanyu eyisizza ekibaluwa kibakuntumye eri omusumba Franklin Mondo Mugisha owa Empowerement Christian Centre Church International okulabikako mu maaso g’omulamuzi nga 22-December-2020 okwewozaako ku bigambibwa nti yajja ku bagoberezi obuwumbi 4 n’ekitundu nga abalimba okubawa sikaala za State House wamu n’emirimu.
Omusumba Mondo avunaanibwa wamu n’omusumba Siraje Ssemanda nga ono ali ku alimanda mu kkomera e Kitalya, Munnamateeka Jimmy Arinaitwe wamu n’omuyimbi Margret Kayima aka Nabbi Omukazi.
Ekiwandiiko ekiteekeddwako omukono kiraga nti Omusumba Mondo n’abalala 2 balina okulabikako mu Kkooti bennyonnyoleko ku misango egy’enjawulo omuli okujja ku bantu ssente nga beyita kyebatali, okuyambako omuntu okuzza omusango wamu n’okwekobaana okuzza omusango.
Kigambibwa Omusumba Siraje, Mondo, Arinaitwe wamu n’abalala abatanakwatibwa wakati w’omwaka 2017 ne 2019 mu bifo eby’enjawulo mu Kampala bajja ssente ku bagoberezi nga babasuubiza okubafunira emirimu ne Sikaala mu State House n’ebweru kyebatakola.
Ye Nabbi Omukazi kigambibwa nti nga 15-November-2020 wakati wa Kampala ne ku nsalo Mutukula ekisangibwa mu Disitulikiti y’e Kyotera yayamba Omusumba Siraje okutoloka mu Ggwanga.
Kigambibwa nti mu February wa 2018 ngali mu Kkanisa z’Abalokole ez’enjawulo wamu n’amasomero mu Disitulikiti y’e Tororo Omusumba Siraje yajja ku Musumba Geoffrey Owor Sues akulira abasumba b’abalokole e Tororo obukadde 82,555,000 ng’amulimbye nti baali bagenda kusasulira abayizi ekitundu ku bisale by’essomero abe’enjawulo, okubayamba okuzimba ekkanisa zaabwe wamu n’entandikwa eri abagoberezi.
Nabbi Omukazi asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Kigo.
Leave a Reply