Eyalondeddwa okukwatira ekibiina kya National Unity Platform – NUP bendera ku kifo kya Ssentebe wa LC5 owa Disitulikiti y’e Kayunga Hon. Hon Nakweede Harriet kafeero olunaku lw’eggulo yayunjuddwa mu butongole eri abalonzi ku mukolo ogwabadde e Nazigo. Nakweede agamba nti mwetegefu okutuukiriza emirimu Omugenzi Ffefekka Sserubogo gyeyali atandiseeko era nasaba abalonzi nti buli webalaba tamusiiya (Umbrella) webaba bateeka akayini basobole okuwona enkuba n’omusana.
Nakweede yakwasiddwa bendera ya NUP mu butongole
