Tabula Luggya omuntu omukulu mubavunaanibwa okwenyigira mu ttemu lyeyali omukulu w’ekika ky’e ndiga Eng. Bbosa Kakeedo olunaku lw’eggulo yatwaliddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Ronald Kayizzi okukola ‘Extra judicial statement’ ngeno ekolebwa omuntu abeera akirizza okuzza omusango mu maaso ga Uganda Police Force awatali kumukaka. Ono omulamuzi yasoose kumutegeeza nti akimanye buli kyagenda okwogera kyakweyambisibwa ng’obujulizi ku ye era kyatutte kumpi essaawa 5.
Luggya yategeezezza Omulamuzi nti ensonga eyaviirako Omutaka Eng. Bbosa okuttibwa nti ye ne famire ye batta Taata wa Tabula eyali amanyiddwa nga Israel mu 1989 nti era mpaawo ku bano yavunaanibwa lwakuzza musango guno ye kwekusalawo okuwoolera.
Ayongerako nti Bbosa ne famire ye bekobaana nebatunda ettaka ly’Obutaka bwa b’Endiga e Mbaale mu Mpigi oluvannyuma lwa Israel eyali Lwomwa okuttibwa ngono yeyali Taata wa Tabula amalaalo ge nabagazimbako kabuyonjo ekyabawaliriza okusenguka okudda e Namulonge.
Tabula agamba nti Bbosa yayongera okwekiika mu kubo lwe bweyagezaako okufuna ebiwandiiko ebiraga obwannanyini ku ttaka ly’e Namulonge bwatuyo Tabula nga Lwomwa omutuufu okusinziira ku ye kwekusalawo amutte afune ekitiibwa kye kyagamba nti kyamunyagibwako.
Oyo yategeezezza Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road nti ku bantu 5 abakwatibwa nebavunaanibwa mu Kkooti y’Omulamuzi wa Mwanga II olwokwenyigira mukutemula Bbosa 4 ku bano tebalina musango nga Kizibwe we Noah Luggya yekka y’omu ku batemu.
Tabula agamba nti Omukyala Milly Naluwenda nga muwandiisi mu Kkooti ya Kisekwa talina musango nti wabula yakwatibwa olwokuba nti yakubira Tabula essimu okumutegeeza nti Bbosa yali atiddwa nti wabula teyaliimu mu mupango gwokutta Bbosa.
Ku buwanga e 17 obwasangibwa mu ssabo lye e Mpigi yabukuŋŋaanya kuteeereza mpewo za Kika nti wabula mpaawo muntu n’omu gweyatta. Tabula wakutwalibwa mu Kkooti ku bbalaza avunaanibwe.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe