Betty Nambooze Bakireke, omubaka mu Palamenti owa Munisipaali y’e Mukono ate nga ye amyuka omukulembeze w’ekibiina kya DP mu bitundu byomu masekkati agamba nti agenda kuwandiikira Ssaababalirizi w’ebitabo ng’amusaba yafeesi ye ebalirire ebitabi by’ekibiina kya DP olw ‘ezimu ku nsaasaanya z’ensimbi ezitategeerekeka .
Nambooze agamba nti Waliwo obukadde 700 ezaaweebwa ekibiina okuva eri Kampuni eyeebuuzibako ensonga ku kwongera okuzza ekibiina ku ntikko, ye kyagamba nti zaali tezeetaagisa.
Agamba nti tasobola kutuula butuuzi n’atunula nga ensimbi z’ekibiina zigenda mu maaso n’okubbibwa era nga bino abyogeredde mu lukiiko olw’abakulembeze b’ekibiina mu bitundu by’amasekkati nga lwayindidde ku ttabi lya DP ku kyalo Nakabago mu Munisipaali y’e Mukono