Namunkukumbo w’abantu okuva mu nsi yonna akungaanidde e Namugongo ku biggwa byabajulizi eky’abakatuliki n’abakulisitaayo okujjukira abajulizi ba Yuganda abaafiirira eddiini yaabwe.
Abajulizi baatulugunyizibwa era nebattibwa ku biragiro bya Ssekabaka Mwanga ii wakati wa 1885 ne 1887, 22 bakatuliki ate 23 bakulisitaayo.
Abalamazi basiyagguka enngendo okuva e Bule ne Bweya mu mawanga ag’enjawulo omuli Congo, Tanzania, Nigeria n’amalala.
Kati giweze emyaka 52 ng’abajulizi bano balangiriddwa mubatuukirivu Pope John Paul VI mu 1964.
Wabula enteekateeka y’emikolo gyomulundi guno ekulembeddwamu aba Kiyinda Mityana Diosis ku luuyi lw’abakatoliki ate olw’abakulisitaayo ne lukulemberwamu obulabirizi bwe Namirembe.