Namuttikwa w’enkuba afudemba enkya n’eggulo awalirizza amaka agali mu 50 agasangibwa e Kitubulu Ntebe okusenguka okwetegula ekibabu ekiyinza okutwala obulamu bwabwe.
Abakoseddwa balaajana nti amayumba gaabwe gazzeemu enjatika ate abalala tebakyalina webayita kutuuka ku maka gaabwe.
Wabula abalala balabiddwako nga basenguka era ng’ebidduka bisomba ebintu byabwe. Abantu bano bagamba nti baagula ettaka lino nga tebamanyi nti liriba lya mutawaana mu biseera by’enkuba.