Namukadde namwandu myaka 60 abaana ba bba bamugobaganya ku ttaka mu Buwenge .
Namukadde namwandu ow’emuaka 60 gaakaaba gaakomba oluvannyuma lwa baana bba beyamulekedde okumugobaganya ku ttaka .
Bino bibadde ku kyalo Idoome ekiri mu gombolola ye Buwenge mu disitulikiti ye Jinja mu maka g’omugenzi Kimbagaya Sabastiano eyafa omwezo oguwedde .
Bawala b’omugenzi nga bakulembeddwamu Edisa Kizza balumbye namwandu Ruth Nabirye Kimbagaya nebamulagira asibemu ebibye era ne beegabanya ettaka .
Nabirye agamba nti yafumbirwa mu maka gano emyaka 30 emabega mweyazaalira abaana bana nga kuliko n’abalongo wabula nga yasaga bba yazaalako dda abanaana bano abamusenza oluti ng’ekikere .
Radio Simba weetuukidde mu maka gano nga abaana b’omugenzi ate nga bonna bantu bakulu era bafumbo esanze bali mukwesika ne namwandu .