Namwandu wa Kasiwuukira yejjeerezeddwa

Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala, Wilson Masalu Musene yejjerezza Sarah Nabikolo namwandu wa Kasiwukira nga ono ye musuubuzi omwatiikirivu mu ggwanga eyatirimbulwa gyebuvuddeko, Eriya Ssebunnya Bugembe eyakazibwako erya Kasiwuukira,  nga yejjeerezeddwa emisango egyekuusa ku kutemula bba .

Abalala ababiri bwebadde bavunaanibwa okuli muganda we Sandrah Nakungu ne ofiisa wa Police , Ashraf Jaiden bo basingisiddwa emisango ne baweebwa ekiboknererezo .

Omulamuzi Wilson Masalu Musene agamba nti okusinziira ku bujulizi bwonna obuleeteddwa buluma bulungi Jeiden ne Nakungu okuba nga beekobaana okutemula Kasiwuukira ne bamutomera n’emmotoka eyamuttirawo mbulaga. Omulamuzi ategeezezza nti asazeewo okwejjeereza Sandrah Nabikolo oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okulemererwa okuleeta obujulizi obumuluba mu nsonga eno naye nga ate Ofiisa wa Police Jaiden Ashraf ne Nakkungu bbo obujulizi obuleeteddwa bubaluma bulungi .

Bano bombi baweereddwa ekibonerezo kya kukaligibwa mu nkomyo bakulunguleyo emyaka 20 mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw’emisango okubakka mu vvi .

 

Leave a Reply