Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’empuliziganya ey’ekikugu Aidah Nantaba ayagala aba Uganda Christian Univeersity bamwetondere olw’ebyo byebaamwogeddeko nti yenyigira mu buvuyo bw’okulemesa aba Yunivasite eno okweddiza ettaka lyabwe erisangibwa e Ntaawo mu Disitulikiti y’e Mukono eriwererako ddala yiika bina mu nkaaga mu mwenda.
Kino wekijjide nga eggulo abakulira Yunivasite eno nga bakulirwamu Amyaka Kyansala Conon Dr. John Ssenyonyi baalabiseeko mu kakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereirwe ku nsonga z’ettaka lino era nebakakasa akakiiko kano nti ettaka eryo eryogerwako lyaweebwa ekkanisa ya Yuganda nga ekirabo okuva eri omugenzi Ham Mukasa, eyali akulira essaza ly’e Kyaggwe ate n’eyali Katikkiro wa Buganda ebiseera ebyo mu 1921 liyambe ettendekero lya Bishop Tucker Theological College, ekkanisa ya Yuganda wamu n’eggwanga okutwalira awamu. Canon Ssenyonyi yategeezezza akakiiko kano nti abantu ab’enjawulo bazze basaalimbira ku ttaka lino era nebalinyaga nga mwemuli ne Minisita avunaanyuzibwa ku nsonga z’eby’amazzi Ronald Kibuule nga ono yazimbako n’ennyumba ey’obuwangaazi, okwo gattako Maj. General Proscovia Nalweyiso n’abalala.
Canon agamba nti Nantaba ng’akyali Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’ettaka mu 2013, yagenda ku ttaka lino n’akuma mu bantu omuliro obutakkiriza kuteesa na ba kkanisa ya Yuganda
Wabula Nantaba bw’abadde mu kafubo ne Radio Simba ategeezezza nti kikyamu nnyo aba Yunivasite eno okumusaa mu mivuyo gino nga ye n’ettaka gyelisangibwa tamanyiiyo.