Aba National Agricultural Research Organization-NARO, bawadde abatuuze b’omukibuga Kira endokwa z’emiti gy’ebibara emitwalo 50 okugisimba, bagirabirire okugikozesa okukuuma obutonde bwensi ate n’okulwanyisa obwavu.
Mu miti gino omubadde emiyembe egyembala awamu ne woovakedo ataggwako buli kadde, NARO, egendereddemu buli mutuuze mu kitundu kino abeeko ne kyakola okuzzaawo obutonde bwensi nti nga tebaagala bawoze nga bbo bwebatalina webasobola kusimba miti olwobutono bw’ettaka.
Bwabadde akwasibwa emiti gino, omumyuka wa Mayor w’ ekibuga kino, Godfrey Nsubuga, agambye nti kino aba NARO kyebakoze kwekusomooza okunene ennyo eri enkulaakulana y’abantu nga ate sibatuuze wabula ng’abakulembeze b’ekibuga kubanga bbo baagala kulaba nga buli mu maka mulimu omuti.
Wabula asabye buli anaagufuna eyongereyo waakiri emirala esatu nga buli nsonda ya puloti waliwo omuti okwongera okugumya obutonde bwensi.