Omubaka wa Mityana North era nga y’e Mumyuuka wa Ssentebe owa National Resistance Movement Buganda Region Godfrey Kiwanda avuddeyo kukyobutesimbawo; “Okusalawo obutesimbawo ku kifo ky’omubaka wa Mityana North nakirowoozezaako bulungi era nakikoze lwa kigendererwa kirungi.
Mu 2015 nagezaako okwesimba ku kifo ky’omumyuuka wa Ssentebe wabula nensabibwa ndekera Al Hajji Abdul Nadduli.
Ekiruubirirwa kyange kyali kyakuwummula ng’Omubaka, bwesakituukako nensalawo nzire e Mityana North.
Ku mulundi guno nakola kyekimu nenkima empapula z’Omubaka wamu ne C.E.C wabula ku luno tekyabadde nga bwekyali mu 2015, Al Haji Nadduli yasabibwa ave mu lwokaano.
Oluvannyuma lw’okutuukiriza ekirooto kyange ng’Omukulembeze wa Buganda, nensalawo obutaddayo mu magombolola 3 agakola Mityana North.
Endowooza yange eyebyobufuzi tegenda kuddamu kutunuulira kulaakulanya Mityana North yokka wabula Buganda yonna.
Okuvaamu kwange kwatuukiddwako oluvannyuma lw’enzikiriziganya n’obukulembeze obwawaggulu.
Neebaza abantu ba Mityana North olw’okundera nentuuka ku kifo kya Buganda. Nabwekityo aba ttiimu Kisoboka mubeere bagumu ebirungi biri mu maaso.
Tuweereza Katonda asobola.
*Kiwanda Godfrey Ssuubi*
*Vice NRM Central Region*
*2020-2025*”