Akulira ebyempuliziganya mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by’eddagala mu Ggwanga ekya Uganda National Drug Authority Abiaz Rwamwiri avuddeyo nategeeza ng’ekitongole kino bwekizudde oluvannyuma lwokwekebejja mu Lab eddagala erikolebwa Kkampuni ya Pastor Robert Kayanja erya ‘Tickoff’ nerizuulibwa nga lirimu ebirungo by’eddagala eryobulabe ebyawerebwa nga; Diazinon, Fripronil (nga lino lyawerebwa okufuyirwa ku mmere eriibwa ebisolo) ne Benalaxyl (nga lino lirina obusobozi okuviira okukwatibwa kkookolo). Ono ayongeddeko nti kyewuunyisa nti bawandiikako nti eddagala lino likolebwa ebintu ebyobutonde.