Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu Ggwanga ekya Uganda National Drug Authority kikutte abasawo 16 abatunda eddagala ly’obutonde mu kibuga Kampala n’emiriraano nga bakozesa ebizindaalo nga kibalumiriza okubuzaabuza abantu mu birango byabwe byebakola.
Bano baguddwako gwa kulanga ddagala mu bukyamu ekikontana n’amateeka agafuga omulimu guno nga kati bakuumirwa ku Poliisi ez’enjawulo.