Nebaza Katonda olwokumpisa mu byenina okuyitamu ku Nsi – Hon. Namujju

Omubaka omukyala owa Disitulikti y’e Lwengo Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Cissy Namujju; “Abantu abamu ababadde bankyalirako mu babadde nga bakaaba naye nga mbagamba nti temukaaba kuba buli kyempitamu kyategekebwa ku kkalenda y’obulamu bwange.
Nebaza Katonda olwokunsobozesa okugoberera kkalenda y’obulamu bwange.
Si kirungi kwagaliza muntu kkomera, naye kirungi nnyo buli muntu ayiteko mu kkomera asobole okumanya ensi bwetambula.” Bino yabyogeredde mu St. Jude Thaddeus Catholic Parish e Kyazanga, mu Disitulikiti y’e Lwengo.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply