Nebwemuggyako amasanyalaze nja kugisoma – Omulamuzi Kisaakye

NEBWEMUGGYAKO AMASANYALAZE NJA KUGISOMA;
Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo ne banne bekandazze nebagaana okubaawo nga Omulamuzi Esther Kisaakye awa ensala ye mu musango gwa Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine, okusooka Ssaabalamuzi yasoose kutegeeza nti bonna bakkaanyizza kimu ekintu Kisaakye kyawakanyizza.
Omulamuzi Kisaakye era yawakanya eky’okugaana Kyagulanyi okuleeta obujulizi obuggya wamu n’okukola ennoongosereza mu mpaaba ye. #KyagulanyiPetition
Leave a Reply