NEMA egamba nti beyasenda mu Lubigi mu tteeka bebalina okuliwa obukadde 600 buli omu mu tteeka

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukuuma obutonde bw’Ensi kya National Environment Management Authority (NEMA) Uganda kivuddeyo nekiwakanya ekiteeso ky’Ababaka ba Palamenti ababadde bagamba nti NEMA eriyirire Abatuuze begamba nti besenze mu Lubigi mu bukyaamu.
NEMA egamba nti etteeka lya Uganda ligamba nti omuntu yenna eyesenze mu ntobazi alina okuliwa ensimbi obukadde 600 okusobola okuzzaawo olutobazi olwo oba okusibwa emyaka 12.
Bino byogeddwa Executive Director wa NEMA Barirega Akankwasah, bwabadde alabiseeko mu Kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku bitongole bya Gavumenti aka Committee of Commissions, Statutory Authorities and State Enterprises (COSASE), akatandise okunoonyereza ku nsonga za Lubigi.
Leave a Reply