Ekitongole ekivunaanyizibwa kukuuma obutonde bw’Ensi ekya National Environment Management Authority (NEMA) Uganda nga kiri wamu n’ebitongole byebyokwerinda kikoze ekikwekweto oluvannyuma lwokutemezebwako nebakwata abantu 9 nga bano Bannansi ba Chine nga kigambibwa nti babadde benyigira mukusanyaawo olutobazi nga basimamu omusenyu ku kyalo Lwamanya mu Disitulikiti y’e Mpigi. Ebintu byebabadde bakozesa ebiwerako biboyeddwa.
#ffemmwemmweffe
NEMA ekutte aba China 9 ababadde basima omusenyu e Mpigi
