Ekitongole ekibumbutayira obutonde bwensi mu Ggwanga ekya National Environment Management Authority (NEMA) Uganda kiyimirizza okuyiwa ettaka mu kisenyi kya Nambigirwa e Mpala-Katabi.
Waliwo omugagga abadde atandise okwesenza ku kisenyi kya Nambigirwa ekisangibwa mu Mpala Cell-Kitala Ward, Katabi Town, mu Disitulikiti y’e Wakiso.
NEMA okuvaayo kyaddiridde abatuuze okwekubira enduulu eri ab’obuyinza nga bagamba ebimotoka ebisomba ettaka ne tulakita bisusse okubaleekanira wamu n’okusitula enfuufu ebaleetedde okulwala.
Ba Environment inspectors basindikiddwa mu kifo kino nga 1-February, 2022, nebakizuula nti eyabadde akulaakulanya ekifo kino yali takoze Environment and Social Impact Assessment, ekikontana ne National Environment Act, No 5 2019.
Okuyiwa ettaka kwayimiriziddwa n’abantu abawerako nebakwatibwa. Wetiiye bbiri zakwatiddwa era okunoonyereza kulaga nti ekifo kino kya Dr. Cedric, eyasazeewo okusaanyawo ekitoogo okugoba emisota n’ebyewalula ebirala obutayingira wuwe okutiisa aba Famire ye n’ente ze.
NEMA egamba nti kino tasobola kukisinziirako kusanyaawo kisenyi okusinziira ku mateeka.