Akwatidde ekibiina ki National Resistance Movement – NRM bendera mu kalulu ka Kawempe North Hajat Faridah Nambi olunaku lweggulo yabadde mu Muluka gw’e Kyebando ngawenja kalulu. Ono yasuubizza okuleetawo enkulaakulana eyomuggundu mu Bannakawempe.
Ye Rosemary Ssenide Head Mobilization yasuubizza Bannakawempe enkyuukakyuuka etabangawo. Ono agamba nti kati ke kaseera Bannakawempe balonde owa NRM abasakire kuba emyaka 20 nokusoba gyebamaze nga balonda abawakanya Gavumenti tebafunyeemu.