Ngenda kutegeka okulonda okwamazima n’obwenkanya mu 2026 – Byabakama

Ssentebe w’Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda eyakalayizibwa ku kisanja ekiggya Omulamuzi Simon Byabakama avuddeyo nasuubiza Bannayuganda akalulu akamazima n’obwenkanya mu 2026.
“Eri Bannayuganda mwenna, mbasuubiza ekitagenda kukyuuka nti tugenda kutuukiriza omulimu gwaffe ogutuweebwa Ssemateeka ogwokutegeka akalulu akamazima n’obwenkanya okutumbula Demokulasiya mu Ggwanga. Nze ne ttiimu yange tugenda kukola kyonna ekisoboka okutegeka akalulu kutujja okwenyumirizaamu ffenna nga Eggwanga.”
Ono agamba nti yadde mu bbanga eriyise abantu babadde bababuusabuusa naye babalazeeko kyebasobola okukola.
Ye Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’essiga eddamuzi, Nobert Mao ategeezezza bano nti buli omu agenda okubeegeka amaaso nga bakola omulimu ggwabwe era ono nabategeeza nti babasuubira okutegeka akalulu akataliimu kyekubiira nti era okusalawo kwonna kwebakola tekulina kuganyula kibiina kimu. Ono agamba nti bano babasunsudde oluvannyuma lwokwekeneenyezebwa obulungi nti era bebasinga okusinziira ku Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nabwekityo kekaseera okuweereza Bannayuganda nga bategeka okulonda okwamazima n’obwenkanya.

Leave a Reply