Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga zabazirwanako Huda Abason Oleru, agamba nti ekimutuusa ekikeerezi mu ntuula za Palamenti gyemirimu emingi gyabeera nagyo ku mmeeza ye.
Ono agamba nti basanga obuzibu okwawuzaamu kyenkanyi obudde bwebalina okubeera mu Palamenti wamu n’okukola emirimu gyobwa Minisita. Nti era tebakikola kagenderere obutalabika mu Palamenti oba okujja ekikeerezi wabula giba mirimu nti wabula bakukyuusaamu.