Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Annet Among avuddeyo nalangira nga bwagenda okwesimbawo ku kifo ky’omumyuuka wa Ssentebe omukyala owa National Resistance Movement – NRM ow’Eggwanga lyonna nga mu kaseera kano kirimu eyaliko Sipiika era omumyuuka asooka owa Ssaabaminisita Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga.