Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo ku bamuyita Omunyarwanda; “Waliwo omuntu eyeyita Mwoyo Gwa Ggwanga eyavuddeyo nalangirira nga bwatalina buzibu n’Abanyakore wabula ku Banyarwanda nga nze. Yebuuza oba nga Abanyarwanda nga nalyo ggwanga mu Yuganda. Kyonna kye kiri, nze siri Munyarwanda wabula ndi Musiita nga ne Maama wange ye Mweene Rukaari osobola okugenda nonoonyereza tajja kusangamu Bunyarwanda bwonna mu nze.
Wabula era tekyandibadde nsonga singa mbadde Munyarwanda. @National Resistance Movement eyogera ku Afirika, so ssi mawanga matono oba Yuganda. Ekisinga obukulu ninayo Ab’oluganda Abanyarwanda nga tuyita mukuwasangana. Abanyarwanda limu ku mawanga ganansangwa agavaamu Yuganda. Lwaki?
Ekisooka, ekitundu ku Rwanda nga ye Disitulikiti y’e Kisoro eyateekebwa mu Yuganda abafuzi b’amatwale nga bakola ensalo. Bano Bannayuganda banansangwa nga boogera Olunyarwanda (Olufumbira).
Ensonga endala ekitundu ku Mpororo, Omutara kyateekebwa e Rwanda abafuzi b’amatwale. Ebimu ku bika bya Bahororo bava Mutara; okugeza; Bagina baava Kichwamba, Bakimbiri baava Rutuungu, n’ebika ebirala nga Bakurungu, Baturagara kigambibwa baava Mutara okuliraana Katuna awali Abakiga.
Nabwekityo abo abonoona obudde bwabwe nga bagezaako okuzuula Musamia ki ava e Kenya, Mukonjo ki ava e Congo, Alur ki ava e Congo, Mukakwa ki ava e Congo oba e South Sudan, Mu Madi ki ava e South Sudan, Sabiny ki ava e Kenya, Mugisu ki aca e Kenya, Munyankore ki oba ow’e Rakai ava e Karagwe oba Buhaya mu Tanzania, ebyo si biruubirirwa bya Pan-Africansion.