Nnabagereka alambudde ebifo omukuumirwa abaana abato abaganyulwa ku nsawo y’ekitongole kya Child Fund.
Asookedde ku ssomero lya Kimwanyi Learning Center e Bulindo, Nakwero. Eno alambudde ebibiina mwebasomera era naabatonera n’ebikozesebwa mu kusoma omuli, ebitabo, ensawo, nekkalaamu. Oluvannyuma ayolekedde Wakiso ku Wakiso Early Childhood Development Center, nga nakyo kirabirira baana okuva ku myaka 3 okutuuka ku 6. Eno nayo agabidde abaana obugaali bw’okuzannyisa, ebitabo, ekkalaamu, ebipande bibayambeko mu kusoma kwabwe.
Nnabagereka akubirizza abazadde okutwala obuvunaanyizibwa eri abaana baabwe nga babawa ebyetaago ebibasobozesa okusoma.
Nnabagereka era asabye abazadde okuzaala abaana bebasobola okulabirira nga beekenneenya ennyingiza yaabwe nga bweyimiridde.
Ategeezezza nti ebizibu ebiriwo mu maka ensangi zino, bivudde kubazadde abatafaayo kukuza bulungi baana baabwe nebabaleka nebafuna embuto nga bakyali bato.
Nnabagereka ye muyima (Patron) w’ekitongole Kya Child Fund Uganda ekitwala ekitundutundu kya Kampala n’emiriraano.