Nnalulungi wa Uganda mu Bungereza, Omumbejja Penina Joseline Nambaale Wampamba, akyaliddeko Katikkiro Charles Peter Mayiga ku Bulange okumwanjulira enteekateeka ze eri obwakabaka.
Nambaale awerekeddwako Rev. Kajumba, kitaawe Omulangira Wampamba wamu n’abatumbula eby’obulambuzi nga bayita mu bwa Nnalulungi.
Katikkiro amutegeezezza nti okuwangula obwa Nnalulungi tekikoma mu kulabika bulungi na kuwangula ngule, wabula buvunaanyizibwa bwebaba basuubira nti awangudde obwa Nnalulungi ajja bukozesa kulw’obulungi bw’abalala kubanga engule emuwa buwi kifo eky’enjawulo ku bantu abalala. Agasseeko nti, mu bulamu abantu bonna baluubirira kulongoosa mbeera za bulamu bwabwe mu by’enfuna, eby’obulamu, okusula obulungi oba okulya obulungi.
Kamalabyonna yeebazizza bazadde ba Penina okumukuza n’obuntubulamu, empisa, n’enkolagana ennungi n’abantu, naasobola okuwangula obwa Nnalulungi kubanga omwana atabanguddwa aba tasobola kutuuka ku buwanguzi bwebutyo.
Ye Minisita w’obuwangwa, ennono n’obulambuzi, David Kyewalabye Male, agambye nti bagenda kuteekawo enkolagana wakati wa w’ekitongole ky’obulambuzi ne Penina okulaba nga obuwanguzi bwe bwongera okutumbula obuwangwa bw’abaganda nebuguteeka ku mutendera ogw’eby’obulambuzi.
Ye Penina Nambaale, alaze obwennyamivu nti abavubuka abali mu nsi z’ebweru kyangu nnyo okwerabira obuwangwa bwabwe nga bali mu nsi ezo kubanga tebafuna budde kukomawo waabwe.
Penina ategeezezza nti agenda kukozesa ekifo ky’obwa Nnalulungi okukuutira abavubuka abali mu nsi endala okukomawo ewaka basobole okumanya gyebava ssaako n’obuwangwa bwabwe.