Nneeyimbira byange esazeeko Kalangala

Luboggola Simba nga eyita mu Pulogulaamu yaayo enganzi eya Nneeyimbira byange esazeeko Kalangala mu masanyu ag’ekitalo.

Zaabadde ziwera ssaawa mukaaga ezoomuttuntu abawuliriza ba Simba abaakazibwako erya Ab’enjawulo abasoba mu 150 nebasimbula okwolekera Kalangala mu ebizinga by’e Ssese mu nteekateeka y’okulambula ate n’okwewummuzzaamu nga basanyuka ate nga bwebameketa ku nsimbi zaabwe

Wabula ekitundu kyebasinze okunyumirwa mu lugendo kibadde kya mmeeri nga eseeyeeya ku nnyanja  Nalubaale, embuutu nga zivuga, emisekera nnyuma, abalya ekyennyanja gattako n’abeekeserera obugonja era kawungeezi nga ziwera essaawa kkumineemu n’ekitundu, nebagoba e Lutoboka oluvannyuma neboolekera Pearl Gardens Beach esinga obunene mu Kalangala.

Enteekateeka eno ekulemberwamu JJ Ssemanda nnannyini mutwe,  ebaawo buli mwaka era nga kati guno omulundi gwakuna so ate era ebaako engombo nga eyoomulundi guno eri “Ndi ku Ddobo” .

Olugendo luba lwa nmaku nnya okuva ku Lwokutaano okutuusa ku Bbalaza era zinaagenda okuweera ssaawa ttaano nga bakomyewo.

Leave a Reply