Noonyereza ku bantu babulijjo abanywa amafuta ga Poliisi; IGP Ochola

IGP Martin Okoth Ochola alagidde akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu poliisi Grace Akullo okunoonyerezza ku bantu babulijjo abasoba mu 200 abagambibwa nti bamaze ebbanga nga bafuna amafuta mu poliisi mu bukyamu ne bagifi iriza ssente ezisoba mu buwumbi 100.

Ochola okuyisa ekiragiro kino kyaddiridde ababalirizi b’ebitabo bya gavumenti okufulumya lipoota ng’eraga nti waliwo abantu baabulijjo abasoba mu 200 ababadde bafuna amafuta okuva mu poliisi ekituusizza ebbanja lyayo okulinnya okutuuka mu buwumbi 165 Olukalala olwogerwako ensonda ziraga nti kusingako bannabyabufuzi omuli n’abooludda oluvuganya Gavumenti, bannakibiina kya NRM ekiri mu buyinza, abakubi b’amasimu ku leediyo, bannamawulire omuli n’ababadde beefuula nti bakolokota Gavumenti kyokka ng’ekintu bakifunamu.

Agamu ku mannya g’abantu baabulojjo abanoonyerezebwako ye: Abdallah Kitatta ssentebe wa NRM mu Lubaga, Hajji Abdul Kiyimba meeya wa Kyengera Town Council, Sebina Sekitooleko ng’ono mwogezi wa NRM e Luweero, Sumin Nabagerekka ng’ono ssaabakunzi wa NRM, Muwanga Lutaaya omwogezi wa NRM mu Wakiso, Justine Bukyana omumyuka wa Ssentebe wa Kitatta, Kamagu, Kivumbi, Segirinya, Meddie Nsereko n’abalala era balina ebyobugagga bingi bye bafunye mu mafuta ga Poliisi.

Leave a Reply