NRM egenda mu Kkooti ku kalulu ka Kawempe North – SG Todwong

Ssaabawandiisa wa National Resistance Movement – NRM Richard Todwong avuddeyo nategeeza nti bbo ng’Ekibiina bawakanya ebyalangiriddwa Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda.
Todwong agamba nti akalulu kano tekabadde kamazima nabwenkanya. Ono ayongeddeko nti tabayinza kukiriza bikolwa byaffujjo byakoleddwa bawagizi na National Unity Platform wamu naabo abagikwatirwa ekisa mu bifo mwebalondera.
Bano bagamba nti bagenda mu Kkooti okuwakanya ebyavudde mu kolonda.
Leave a Reply