Olunaku lw’eggulo abalamuzi 3-2 mu Kkooti ya Ssemateeka bakirizza nti ekyasalwawo Olukiiko lwa National Resistance Movement – NRM olw’okuntikko eky’okulonda Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okubeera sole candidate mu kalulu k’obwa Pulezidenti omwaka ogujja negyebujja bwekitalina buzibu.
Abalamuzi 3 bawakanyizza eky’Ababaka 11 aba NRM abavaayo nebawakanya eky’ekibiina kyabwe okulonda Pulezidenti Museveni nga Sole Candidate wamu n’okubagaana okugenda mu ntuula za NRM e Kyankwanzi kyali tekyetaagisa Kkooti ya Ssemateeka kukitaputa. Abalamuzi okuli; Alfose Owiny-Dollo, Cheborion Barishaki ne Christopher Madrama balagidde ababaka 11 okusasula ensimbi ekibiina kya NRM zekisasanyizza mu musango guno.
Kkooti egamba nti Ababaka bano balina okusasula kuba batwala omusango mu Kkooti enkyamu nga balina kugitwala mu Kkooti Enkulu. Wabula Abalamuzi 2 okuli; Kenneth Kakuru ne Fredrick Engonda-Ntende bateegezezza nti Kkooti ya Ssamateeka erina obuyinza okutunula mu nsonga z’ebibiina.
Ababaka kuliko; Theodore Ssekikubo, Barnabas Tinkasiimiire, Mbwatekamwa Gaffa, Monicah Amonding, John Baptist Nambeshe, Patrick Nsamba, Samuel Lyomoki, Sylvia Akello, Susan Amero, James Acidri ne Moses Adome Bildard