NRM mwanfiriza buli kimu kati munsudde – Catherine Kusaasira

Omuyambi wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Catherine Kusasira Sserugga avuddeyo alaajana; “Nfiiriddwa buli kimu ekyange lwakibiina kyange ekya National Resistance Movement – NRM, obukuusa bungi mu NRM ng’ekibiina, okola nnyo newewaayo mu buli kimu okulaba nti ekibiina kibeera bulungi naye tosiimibwa. Nga neerekereza ebyange bingi mu kalulu akawedde, nentuuka nokwewola ssente mu bbanka ntandikewo pulojekiti ezisikiriza abavubuka nga akakodyo kokulwanyisa ekisinde ekyali kitandiseewo (National Unity Platform – NUP).
Lwaki NRM, nfiiriddwa buli kimu kuba ggwe, bizineesi, emikwano n’abawagizi bonna bandeseewo lwakuba nalondowa ggwe. Nalowooza nti Pulezidenti Museveni yakulira ekibiina era aweebwa ekitiibwa buli omu wabula beyonna byappa kuba buli gwalagira okubaako kyakola ate akola birala. NRM tensiimanga olw’amaanyi n’obudde bwange bwenawaayo mu kiseera ekyo wabula nfiiriddwa buli kimu, NRM ofuuse ekyenyinyarwa gyendi n’abalala abafiiriza ebyabwe kuba ggwe. Pulezidenti Museveni bangi si banno, abo bewesiga bebagenda okuviirako okugwa.”
Naye abaffe, Kusaasira, omuntu gwewanoonyeza akalulu yawangula, ‘future yo eri secured’. Kasiimo ki akalala konoonya? Gavumenti yataddewo enkola y’emyooga ne Parish Model mwosobola okuyita okwekulaakulanya nga Bannayuganda abalala kuba eggwanga ttebenkevu. Lwaki teweyunga ku myooga oba bonna bagaggawale?
Leave a Reply