Ababaka babiri mu Palamenti ku bana abaayitiddwa balabikeko ku kitebe kya Police ekikola ku buzzi bw’emisango e Kibuli (CID).
Ababiri abalabiseeko kuliko Nsereko Muhammad akiikirira Kampala ey’amasekkati wamu ne Allan Ssewanyana owa Makindye ey’obugwanjuba era nga bano batuuse ku ssaawa ttaano eza kalasamayanzi.
Bano beerayiridde obutava ku kyakuwakanya kkomo lyamyaka, wadde nga Gavumenti ekozesa Police okubatulugunya.
” Bannaffe baagamba nti balina ennamba, balina emmundu, balina obusaale, balina n’amagye , kati batya ki?”. Mubaka Nsereko Muhammad.