Nsobola okuwangula museveni mu kalulu – Bobi Wine

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka @Bobi Wine;

Nsobola okusiggukulula Museveni mu ntebe nga mpise mu kalulu.

Nzikiriza munda munze n’omwoyo wamu n’omutima ggwange nti Demokulasiya si katemba wabula byaddala. Nkimanyi bulungi nti People Power si ngombo wabula bubaka obw’enkyuukakyuka era nga nkimanyi nti Bannyuganda basobola okuleetawo enkyuukakyuka mu ddembe.

Abantu bano batwala omutawaana ogw’amaanyi okuleeta Museveni mu buyinza. Yabakirizisa okukwata emmundu bagende mu nsiko nti basobola okuleetawo enkyuukakyuka mu Yuganda awatali kuyiwa musaayi.

Demokulasiya y’engeri yokka ekkirizibwa mu nsi yonna okuyitwamu okukyuusa Gavumenti ebeera eriko. Y’engeri yokka gyetulina, NKIDDAMU y’engeri YOKKA gyetulina. Omukulembeze yenna akugamba obutakiririza mu Demokulasiya abeera agenderera kukuumira mubuddu.

Munnayuganda olina amaanyi n’obuyinza; teri agenda kubikuwa tebakulimba. Olina kumanyisibwa butya bw’olina okubikozesa mungeri ekugasa, kati zuukuka mu DDEMBE ofune ENNANGAMUNTU obudde bwokulonda bwebutuuka genda olonde.

Ffe abavubuka ab’omulembe guno tukola ebitundu 80 ku 100 ku bungi bw’abantu bonna abali mu Yuganda, era ffe bebamu abaala bataagala kukyuusakyuusa mu Ssemateeka waffe.

Sikiririza mubutabanguko wadde effujjo era sirowooza nti omuntu ategeera akiririza mu ffujjo n’obutabanguko, nabwekityo enkola eza Ddemokulasiya kyekyokuddamu kyokka. Nzikiriza nti tusobola okukikola era nzikiriza nti tugenda kukikola singa Bannayuganda bonna abatuwagira bewandiisa era nebavaayo mu bungi nebalonda tusobola okusiggukulula Museveni mu buyinza.

Nkimanyi bulungi nti Museveni abaddenga akiddingana nti; “Nina emmundu, sisobola kumala gagibwa mu buyinza bwentyo.”

Yahya Jammeh, Nnakyemalira wa Gambia, nga muto nnyo ku Museveni, nga alina ebyokulwanyisa ebyamaanyi okusinga Museveni yasiggukululwa mu buyinza n’akalulu. Emirundi egiwerako twambalaganue ne Museveni mu kalulu e Kyadondo East, Bugiri, Jinja Municipality East, Rukungiri, Arua mu ‘by-elections’ era netumuwangula so nga yalina emmundu wamu ne ssente. Kati olwo ki kyotegeeza?!

Leave a Reply