NUP erina beyasuubiza ssente bagambe nti bawambibwa nebatabasasula – UHRC

Akakiiko akalera eddembe ly’obuntu mu Ggwanga aka Uganda Human Rights Commission – UHRC kavuddeyo nekavumirira ekikolwa ky’akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba eky’okuddira ebifaananyi n’obutambi bw’abantu abagambibwa okubuzibwawo abebyokwerinda nabuteeka ku mikutu gye emigatta bantu nga kwatadde nebaayita ab’enganda z’abantu abo baalaga nga babanja abantu baabwe nebagamba nti buno bulimba bwennyini Mpuuga bwatandise okukozesa okwonoona erinnya ly’akakiiko kano.
Okusinziira ku bubaka bwebatadde ku mukutu gwabwe ogwa X bagamba nti nabo balina abantu abaabawa obujulizi nti Mpuuga n’abakulembeze abalala mu National Unity Platform baabasuubiza ssente bagambe nti baawambibwa kyokka nebatabasasula naye nti obujulizi buno baabwekuumira ng’ekitongole eky’obuvunaanyizibwa.
Bano era bagamba nti kyewunyisa okulaba ng’omuntu ow’ekitiibwa nga Mpuuga azze mukuttattana erinnya lyabwe mu kifo ky’okubayambako okutuukiriza obulungi ekibasuubirwamu.
Leave a Reply