NUP NE PEOPLES FRONT FOR TRANSITION TUKITEGEDDE NTI MUTEGESE OKWEKALAKAASA – CP FRED ENANGA

Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga; “Twagala okutegeeza Bannayuganda nti obukulembeze mu bitongole byebyokwerinda bafunye obukakafu nti National Unity Platform n’ekisinde ekipya ekya Peoples Front for Transition ne Bannabyabufuzi abalala bategese okwekalakaasa wamu n’okukola effujjo okwetoloola eggwanga lyonna okutandika ku bbalaza nga 8.11.2021.
Obujulizi bwetulina bulaga nti NUP yakunze abakulembeze baayo ku mitendera egyenjawulo okuli; Ababaka ba Palamenti, ba Kansala wamu n’abakulembeze abalala abakozi beffujjo okuvaayo bakole efujjo wamu n’okwekalakaasa, nga bawakanya eky’okukuumira ku alimanda Ababaka Hon. Ssegiriinya Muhammad ne Hon. Allan Ssewanyana mu ngeri etali mu mateeka.
Ensonga endala yetoloolera ku nkyuukakyuuka ezigenda okukolebwa mu kugaba akakalu ka Poliisi n’ekkooti. Mu ngeri yemu ekisinde kya The Peoples Front For Transition, nga kiyita mu mukulembeze waakyo Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye, abadde akunga abantu okukozesa eryanyi okuvvuunika Gavumenti eyalondebwa mu mazima n’obwenkanya.
Nga mwenna bwemukimanyi, effujjo lyebyobufuzi lyabulabe nga bwemwalaba ebyaliwo mu November 2020, bino bisobola okuleetera abantu okufa wamu n’okwonoona ebintu. Kyanaku nti Bannabyabufuzi abalondemu okuva kuludda oluvuganya Gavumenti batuuse kukukiriziganya nga kuno nga balowooza nti okukuma mu bantu omuliro, okunyaga, okwonoona ebintu nga tiketi enaleetawo enkyuukakyuuka mu Yuganda.
Tewali nsonga y’amaanyi eyinza kubaleetera kwenyigira mu bikolwa byafujjo. Ebitongole byebyokwerinda byafuna ekyokuyiga mu byaliwo mu November 2020, ku mulundi guno tugenda kukwata abo bonna abategeka bino, ababikumamu omuliro, ababakulira nabanenyigiramu bonna nabo ababiteekamu ssente.
Wetwogerera abatebeerezebwa 4 bakwatiddwa okuva mu kakundi ka NUP e Kasese nga babadde bategeka okukuma mu bantu omuliro. Bano kuliko; Basisa Bryans 37, omutuuze we Kamaiba ward, mu Disitulikiti y’e Kasese, Mumbere Isaac, 31 omutuuze ku kyalo Nyangi, Bwambale Geoffrey, 29 omusawo era omutuuze ku kyalo Nyagoda 1 ne Isande Atanazio, 27 nga Laboratory technician omutuuze w’e Ibanda I cell, nga bakuumirwa ku Poliisi e Kasese.
Nga nfundikira, tetugenderera kumalako bantu ddembe lyabwe lyakwogera wabula tugenderera kumalwo ffujjo wamu n’enteekateeka ezikoleddwa mu ngeri eyekiboggwe okukuma mu bantu omuliro nga balowooza enavaamu okwekalakaasa okw’amaanyi. Tugenderera kukuuma Bannayuganda balemwe kufiirwa bintu byabwe n’obulamu mu bikolwa bino ebitalina mulamwa.
Leave a Reply