NUP n’Obukulembeze bwayo biriwo mu mateeka – Bobi Wine

Pulezidenti wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine avuddeyo ku Mw. Nkonge Moses Kibalama ne Mw. Ssimbwa Paul Kagombe; “Mu kadde kano Bannayuganda bangi balabye akatambi ka Mw. Nkonge Moses Kibalama ne Mw. Ssimbwa Paul Kagombe nga boogera ku nsonga za

National Unity Platform.
Tukimanyi nti buno bukodyo bwabali mu buyinza okugezaako okutulemesa okulwanirira eddembe lyaffe. Enaku eziwerako essimu za Mw. Kibalama tezibaddeeko nga zo eza Mw. Ssimbwa sibeerako bwezivaako, nga azikwata yeyita musirikale nga ategeeza nga bwebamulina mu kaduukulu.
Ku Bbalaza ya wiiki eno Bannamateeka baffe bagenda mu Kkooti era bombi Mw. Kibalama ne Ssimbwa bakuba ebirayiro bya Kkooti era nebasaako omukono nga bawakanya omusango ogwatuwawabirwa n’ekibiina. Wabula kyatwewunyisa okutuuka ku Kkooti nga waliwo Munnamateeka gwetutamanyi nga agamba nti alina ebirayiro bya Kibalama ne Ssimbwa! Omulamuzi omuyivu yebuuza engeri abantu bebamu gyebasobola okussa emikono ku birayiro bibiri ebitakwatagana.
Kiswaza abatukulembera okulaba nti omuntu y’omu Kibalama eyalabikira ku TV emirundi egiwerako nga akakasa nga buli kimu kyetwakola kyakolebwa mu mateeka nga tukyuusa obukulembeze twagoberera amateeka! Bayagala Kkooti eyimirize emirimu gy’ekibiina naye Omulamuzi nagaana.
Bannayuganda banange kino kikakasa ekintu kimu; bano batutidde, bagezezaako emirundi mingi bagezezaako okutulemesa era bakyagezaako. Naye amaanyi g’abantu gajja kweyoleka.
Amaka ga Kibalama kati gakuumwa maggye kitegeeza yakakiddwa okutwegaana aveeyo agambe nti buli ekyakolebwa tekyali mu mateeka.
Wiiki eziyise twafuna amawulire ku biki ebibadde bigenda mu maaso era obudde bwebunaaba butuuse tujja kubategeeza, naye mukadde kano ensonga z’amateeka katuzirekere Kkooti ezimalirize.
Kankozese omukisa guno okutegeeza Bannabyabufuzi nti Bannayuganda babalaba era akadde konna bajja kuwangula abo abakozesa ebifo byabwe mu by’obufuzi okwegagawaza.
Oyo yenna alyamu Abantu olukwe ajja kuvaayo era bangi bakyabawa enguzi. Kiswaza okulaba Mw. Kibalama nga agamba nti twamusuubuzi obukadde bwa ddoola 5 okukyuusa obuyinza bw’ekibiina. Kino temukiwa budde, tukimanyi bulungi nti ebbanga ddene Gavumenti egezaako okulaga nti tufuna ssente okuva ebweru! Mukimanye nti Bannayuganda si basiru. Tukimanyi nti ekiddako kyakuteeka ssente nnyingi eza Ddoola wamu n’ebyokulwanyisa mu mayumba gabanaffe naye ekyo nakyo kijja kugaana.
Ngumya Bammemba n’Abawagizi ba National Unity Platform nti weri era mu mu mateeka era nga kati tuteekateeka kuwa bantu bendera n’emirimu emirala.
#PEOPLE POWER-OUR POWER
#NUP-EVERYWHERE
Kyagulanyi Ssentamu Robert – Bobi Wine
President, National Unity Platform”
Leave a Reply