Nyanzi akomeseddwawo mu kkooti leero

Dr. Stella Nyanzi olwaleero akomezebwawo ku kkooti ya Buganda Road omulamuzi adde okuwulira emisango gy’okulengezza Pulezidenti Museveni ng’ayita mu bigambo byeyawandiika ku mukutu gwa ‘facebook’.

Nyanzi yasindikibwa mu kkomera e Luzira bwe yeegaana emisango gino era n’agaana n’okusaba okweyimirirwa n’agamba nti k’agende e Luzira asomese abakyala abaliyo engeri gye bakozesaamu omukutu gwa ‘facebook’.

Oludda oluwaabi olwaleero lusuubirwa okutegeeza omulamuzi Gladys Kamasanyu wa okunoonyereza we kutuuse.

Emisango egimuvunaanibwa mulimu okukozesa obubi kompyuta bwe yeeyambisa omukutu gwa ‘Facebook’ n’aweereza Pulezidenti Museveni obubaka obumuyozaayoza okutuuka ku mazaalibwa ge kyokka n’atakoma okwo n’awemuliramu maama wa Museveni, omugenzi Esiteri Kokundeka.

Oludda oluwaabi lugamba nti ebigambo bino tebyakoma ku kuvvoola Museveni wabula byamumalako emirembe.

Nyanzi yakwatibwa ku poliisi y’e Wandegeya gye yali agenze okusaba obukuumi nga yeekalakaasa olw’abakulira yunivasite e Makerere okugaana okumuzza ku mulimu n’gate yawangula omusango mwe baali bamuvunaanira okweyisa obubi.

Leave a Reply